Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’entambula ekya Uganda National Roads Authority, (UNRA), kiyimirizza entambula y’ekidyeeri ekisaabaza abantu okuva ku mwalo gwe Masindi okugenda mu district ye Kiryandongo ne Apac.
Abakugu b’ekitongole kya UNRA baazudde emiwaatwa mu kidyeri kino, bagamba nti kyabulabe eri obulamu bwabantu ssinga kisigala nga kiri ku mazzi.
Allan Ssempebwa ayogerera UNRA agamba nti ekidyeri kino okuyimirizibwa kyakutaataaganya entambula y’abantu abakozesa omwalo gwe Masindi okwolekera omwalo gwe Kungu okuyitira mu district ye Kiryandongo ne Apac nti naye okutaasa obulamu kyekisiinga obukulu.
Agambye nti mukiseera kino abantu bakubirizibwa okuyitira ku luguudo lwa Kampala – Mbale -Trininyi, okuyitira e Soroti, Dokolo, Lira, Apac.
Oba basobola okukozesa olwe Masindi, Murchison Falls National Park, Pakwach okuyitira e Ggulu n’endala eziriwo ezitali za ku mazzi wadde zeewala.
Ekidyeri kino kyali kyakoma okuddaabirizibwa mu july 2021.